Mark 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo abanyiiga ne bagambagana nti: “Omuzigo ogwo gufudde ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala ne beebuuza nti, “ Amafuta gafudde ki bwe gatyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abamu ku baaliwo, ne basunguwala. Ne bagambagana nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa bwe gutyo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala nga bagamba nti Amafuta gafudde ki bwe gatyo?