Mark 14:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ajja ogwokusatu, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummuddeko? Kimala, akadde katuuse; Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ajja omulundi ogwokusatu, n'abagamba nti, “ Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yajja omulundi ogwokusatu n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Mulekere awo! Essaawa etuuse! Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja omulundi ogw'okusatu, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi.