Mark 14:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago, yali akyayogera, Yuda Yisikariyoti, omu ku Kkumi n'Ababiri, n'atuuka n'ekibiina kinene eky'abakutte ebitala n'emiggo okuva mu bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo amangwago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri (12), n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amangu ago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde.