Mark 14:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka, amangu ago n'amusemberera, n'agamba nti: “Rabbi!” n'amunywegera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yatuuka, amangwago n'ajja gy'ali n'agamba nti, “Labbi;” n'amunywegera nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Muyigiriza!” Era n'amunywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yatuuka, amangu ago n'ajja gy'ali n'agamba nti Labbi; n'amunywegera nnyo.