Mark 14:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lunaku nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Kiggwa, naye temwankwata. Kale, ebiwandiiko ka bituukirizibwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu Yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo nga njigiriza, ne mutankwata. Naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa biryoke bituukirizibwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.