Mark 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omuzigo guno gubadde guyinza okutundibwa ku muwendo gwa dinaari ebikumi bisatu n'okusoba, ne zigabirwa abaavu.” Ne banyiigira omukazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amafuta gano ganditundiddwa eddinaali bisatu (300) n'okusingawo ne ziweebwa abaavu.” Ne bamwemulugunyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gubadde guyinza okutundibwa, ne guvaamu ensimbi ezisoba mu denaari ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu.” Bwe batyo omukazi ne bamunenya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amafuta gano bandiyinzizza okugatundamu eddinaali ebikumi bisatu n'okusingawo n'okugabira abaavu. Ne bamwemulugunyiza.