Mark 14:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'amugoberera ng'ayima walako okutuukira ddala mu luggya lwa kabona omukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peetero n'agoberera Yesu ng'ali walako, n'atuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero yagoberera Yesu, ng'amwesuddeko ebbanga, n'ayingirira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, n'atuula n'abakuumi, n'ayota omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Peetero n'amugoberera wala, okutuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu; yali atudde n'abaweereza ng'ayota omuliro.