Mark 14:56 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bangi ne bamuleetako obujulizi obw'obulimba, naye obujulizi bwabwe nga tebukwanagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bangi abaaleeta obujulizi obw'obulimba ku ye, era obujulizi bwabwe bwali bukoonagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo bangi abaawa obujulizi obw'obulimba nga bamulumiriza, obujulizi bwabwe ne butakwatagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaamuwaayiriza eby'obulimba bangi, so n'okuwaayiriza kwabwe tekwali kumu.