Mark 14:58 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ffe twamuwulira ng'agamba nti: ‘Nnyinza okumenyawo Ekiggwa kino ekyakolebwa n'emikono, mu nnaku ssatu ne nzizaawo ekirala ekitakoleddwa na mikono.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ffe twamuwulira ng'agamba nti, ‘Ndimenya Yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Twamuwulira ng'agamba nti: ‘Ndimenyawo Essinzizo lino eryazimbibwa abantu, ate mu nnaku ssatu, ndizimbawo eddala, nga terizimbiddwa bantu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ffe twamuwulira ng'agamba nti Ndimenya yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.