Mark 14:60 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabona omukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yezu nti: “Tolina ky'oyanukula? Kiki kino abantu bano kye bakulumiriza?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, nti, “Ggwe toyanukula n'akatono? Kiki kye bakulumiriza bano?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ssaabakabona n'ayimirira bonna we bamulabira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina kyakuddamu? Kiki ky'ogamba ku bino bye bakulumiriza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, ng'agamba nti Ggwe toyanukula n'akatono? kiki kye bakulumiriza bano?