Mark 14:61 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'asirika busirisi, n'atabaako ky'addamu. Kabona omukulu n'amubuuza ogwokubiri nti: “Ggwe Kristu, Omwana w'Eyaweebwa Omukisa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'asirika, n'ataddamu. Ssaabakabona n'ayongera okumubuuza nti: “Gwe Kristo, Omwana wa Katonda atenderezebwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amugamba nti Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?