Mark 14:62 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Ye nze! Era muliraba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'Obuyinza era ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba nti, “Ye Nze, nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'addamu nti: “Ye nze. Era muliraba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira mu bire eby'eggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'agamba nti Nze nzuuno; nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.