Mark 14:64 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti mwewuliridde ekivumo kye. Mmwe mukiraba mutya?” Bonna ne bamusalira omusango nti asaanidde kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?” Bonna ne bamusalira gwa kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya?” Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde. Mmwe mulowooza mutya?” Awo bonna ne basalira Yesu omusango nti asaanidde okuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya? Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa.