Mark 14:65 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ne basooka okumufujjira amalusu, ne bamubikka mu maaso, ne bamukuba, ne bagamba nti: “Lagula!” N'abaweereza ne bamukuba empi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abamu ne batandika okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti, “Lagula.” Abakuumi nabo ne bamutwala nga bamukuba empi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ne batandika okumuwandira amalusu, ne bamubikka ku maaso, era ne bamukuba ebikonde nga bagamba nti: “Tulage akukubye.” Awo abakuumi ne bamutwala nga bamukuba empi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abamu ne batanula okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti Lagula: abaweereza ne bamutwala nga bamukuba empi.