Mark 14:67 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe yalaba Petero ng'ayota, n'amutunuulira, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yezu ow'e Nazareti.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'amugamba nti, “Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amwetegereza, n'agamba nti: “Naawe wali n'Omunazaareeti oyo, Yesu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'agamba nti Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.