Mark 14:68 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye ne yeegaana, n'agamba nti: “Simanyi, n'okutegeera sitegeera ky'ogamba.” N'afuluma, n'agenda mu luggya olw'omu maaso. Awo enkoko n'ekookolima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Simanyi, so sitegeera ky'oyogera.” N'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Ky'ogamba sikimanyi era sikitegeera.” AwoPeetero n'ava mu luggya, n'alaga mu lukuubo olufuluma ebweru. Awo enkoko n'ekookolima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti Simanyi, so sitegeera ky'oyogera: n'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima.