Mark 14:69 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omuzaana bwe yamulaba, n'addamu n'agamba abaali bayimiridde awo nti: “Ono, omu ku bo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuzaana n'amulaba, n'atandika era okubagamba abaali bayimiridde awo nti, “ Omusajja oyo omu ku bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuwala oli n'addamu okulaba Peetero, n'agamba abaali bayimiridde awo nti: “Omusajja ono ye omu ku bagoberezi ba Yesu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuzaana n'amulaba, n'atanula nate okubagamba abaali bayimiridde awo nti Ono w'ewaabwe.