Mark 14:70 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeegaana nate. Ate nga wayiseewo akabanga, abaali bayimiridde awo ne bagamba Petero nti: “Kya mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugalilaaya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’ayongera okwegaana. Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero n'ayongera okwegaana. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti, “Mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Peetero ne yeeyongera okwegaana. Era nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bamugamba nate nti: “Ddala oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga naawe oli Mugalilaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne yeegaana nate. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti Mazima oli w'ewaabwe; kubanga oli Mugaliraaya.