Mark 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mbagamba nti wonna Evangili eno gy'eribuulirwa mu nsi yonna, ky'akoze kiryogerwangako okumujjukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, kino omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mazima mbagamba nti wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.