Mark 15:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago obudde nga bwakakya, bakabona abakulu, abakadde, abawandiisi n'olukiiko lwonna ne bateesa, ne basiba Yezu, ne bamutwala, ne bamukwasa Pilato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo amangwago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwali nga bwakakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, era n'abakiise abalala bonna, ne bateesa. Ne basiba Yesu, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amangu ago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato.