Mark 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'addamu okubagamba nti: “Kale, ono gwe muyita kabaka w'Abayudaaya mmukole ntya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Piraato n'addamu nate n'ababuuza nti, “ Kale nnaamukola ntya gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pilaato n'abagamba nti: “Kale gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya nnaamukola ntya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Piraato n'addamu nate n'abagamba, nti Kale nnaamukola ntya gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya?