Mark 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'agamba nti: “Ddala yakola kibi ki?” Bo ne beeyongera okukaalaama nti: “Mukomerere ku musaalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Piraato n'abagamba nti, “Kazzi kibi ki ky'akoze?” Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “Mukomerere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Kyokka ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Piraato n'abagamba nti Kazzi kibi ki ky'akoze? Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Mukomerere.