Mark 15:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bamufukaamirira ne bamusinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bafukamira nga beefuula abamussaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza.