Mark 15:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamukomerera n'abanyazi babiri omu ku ddyo, omulala ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakomerera n'abanyazi babiri buli omu ku musaalaba ogugwe, okumpi ne Yesu, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.