Mark 15:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayise ne bamusekerera, ne bamunyeenyeza omutwe nga bagamba nti: “Ha, ggwe amenya Ekiggwa kya Katonda n'okizimba mu nnaku ssatu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti, “So, ggwe amenya Yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaali bayitawo ne bavuma Yesu, ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ha! Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti So, ggwe amenya yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu,