Mark 15:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakabona abakulu n'abawandiisi nabo ne bamuduulira nga bagamba nti: “Yawonyanga balala; ye tayinza kwewonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi nabo ne bagamba nti, “ Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, nabo ne bamukudaalira nga bagambagana nti: “Yawonyanga balala, tayinza kwewonya yennyini!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi bokka na bokka ne bagamba nti Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka.