Mark 15:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ssaawa eyoomwenda, Yezu n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakitani?” ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Eloi, Eloi, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ssaawa ey'omwenda Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Eroi, Eroi, lama sabakusaani? okutegeezebwa kwakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?