Mark 15:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu n'adduka, n'annyika ekyangwe mu nkaatu, n'akitunga ku lumuli, n'amuwa anywe, nga bw'agamba nti: “Muleke, ka tulabe oba Eliya anajja okumuwanulayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne wabaawo eyadduka n’addira ekyangwe n’akijjuza wayini omukaatuufu, n’akisonseka ku luti, n’akiwanika eri Yesu anyweko, nga bw’agamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwannulayo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne wabaawo omu n'adduka, n'annyika ekyangwe mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti, “ Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu n'adduka n'annyika ekyangwe mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa, nga bw'agamba nti: “Leka tulabe oba nga Eliya anajja n'amuggya ku musaalaba!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu n'addukana, n'annyika ekisuumwa mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula.