Mark 15:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Senturiyo eyali ayimiridde awo mu maaso bwe yalaba bw'akoowodde atyo ng'assa omukka omuvannyuma, n'agamba nti: “Omuntu ono mazima abadde Mwana wa Katonda!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja ky’abaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, n’agamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti, “ Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo ng'atunuulidde Yesu, bwe yalaba engeri gy'afuddemu, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.