Mark 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'amubuuza ogwokubiri nti: “Toliiko ky'oddamu? Laba bye bakulumiriza nga bwe biri ebingi!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti, “ Toyanukula n'akatono? Laba ebigambo bingi bye bakuloopa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato n'amubuuza nti: “Tolina kyakuddamu? Laba emisango gye bakuwawaabira bwe giri emingi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti Toyanukula n'akatono? laba ebigambo bingi bye bakuloopa.