Mark 15:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era waaliwo n'abakazi abaali balengera nga bayima walako; mu bo mwalimu Mariya ow'e Magudalena ne Mariya nnyina Yakobo omuto ne Yoze, ne Salome,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo mwalimu ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era waaliwo abakazi abaali ewalako nga balengera. Abamu ku bo be bano: Mariya Magudaleena, Salome, ne Mariya nnyina Yose ne Yakobo omuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo waaliwo ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome;