Mark 15:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abaayitanga naye ng'akyali mu Galilaaya, nga bamuweereza. Waaliwo n'abakazi abalala bangi abaali bambuse naye e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, n’abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi bano baayitanga ne Yesu nga bamuweereza, bwe yali mu Galilaaya. Era waaliwo abakazi abalala bangi abajja naye ng'ayambuka e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abaalinnya naye e Yerusaalemi.