Mark 15:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mariya Magudalena ne Mariya owa Yoze baalaba we yali ateekeddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateekebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yose, ne beetegereza omulambo gwa Yesu we guteekeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateebwa.