Mark 15:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo omu eyali ayitibwa Barabba, ng'asibiddwa mu kkomera wamu n'abajeemu abaali batemudde abantu mu kasambattuko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo omu ayitibwa Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema, abatta abantu mu kegugungo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mulundi guno, mu kkomera mwalimu omusajja ayitibwa Barabba, eyasibwa awamu ne bajeemu banne abatta abantu mu kajagalalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo omu ayitibwa Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema abatta abantu mu kujeema okwo.