Mark 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sabbaato ng'emaze okuyita, Mariya ow'e Magudala ne Mariya owa Yakobo ne Salome ne bagula ebyakaloosa bagende bamuzirage.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, eby'okusiiga omulambo gwa Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwa Sabbaato bwe lwaggwaako, Mariya Magudaleena ne Salome ne Mariya nnyina Yakobo, ne bagula ebyobuwoowo, balyoke bagende basiige omulambo gwa Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, bajje bamusiige.