Mark 16:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, n'alabikira mu nfaanana endala bannaabwe babiri abaali batambula nga bagenda mu kyalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira babiri ku bo nga balaga mu kyalo. Yali afaanana mu ngeri ndala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo.