Mark 16:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abo ne bagenda babuulira abalala, naye ne batabakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, naye nabo ne batabakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne baddayo, ne babuulira bannaabwe. Naye bo ne batakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, so ne batabakkiriza.