Mark 16:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, n'alabikira bennyini ekkumi n'omu nga batudde balya. N'abavunaana obutakkiriza bwabwe n'obukakanyavu bw'emitima, kubanga baali bagaanyi okukkiriza bali abaali bamulabye ng'azuukidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu (11) nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma, Yesu n'alabikira abayigirizwa be ekkumi n'omu, nga batudde balya. N'abanenya olw'obutakkiriza bwabwe, n'olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza bigambo by'abo abaamulaba ng'amaze okuzuukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakaayavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira: