Mark 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi yonna, mulangirire Evangili eri buli kitonde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Mugende mu nsi zonna, mubuulire Enjiri eri ebitonde byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi zonna, mutegeeze abantu bonna Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna.