Mark 16:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bagenda ne bayigiriza buli wantu, Omukama ng'akolera wamu nabo, ebigambo byabwe ng'abikakasa n'obubonero obwabigenderangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa be ne bagenda ne bategeeza abantu wonna wonna Amawulire Amalungi. Mukama n'ababeeranga, era n'akakasanga obubaka bwabwe ng'abakozesa ebyamagero.]
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.