Mark 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatunula, ne balaba ng'ejjinja lyayiringisiddwawo; kubanga lyali ddene nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali ate nga lyali ddene nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ejjinja eryo lyali ddene nnyo. Naye bwe beetegereza, ne balaba nga liyiringisiddwa, ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali; kubanga lyali ddene nnyo.