Mark 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: Muleke kusamaalirira nnyo; munoonya Yezu ow'e Nazareti eyakomererwa ku musaalaba, azuukidde, muno taliimu; mulabe ekifo mwe yabadde ateekeddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Muleke kuwuniikirira. Munoonya Yesu Omunazaareeti eyakomererwa ku musaalaba. Wano taliiwo. Azuukidde. Mulabe, kino kye kifo we baabadde bamutadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa.