Mark 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bafuluma, ne badduka mu ntaana; kubanga baali bakankana nga bawuniikiridde; ne batabuulira n'omu kintu; kubanga baali batidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bafuluma ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bafuluma, ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga baakwatibwa ensisi n'okuwuniikirira. Era ne batabuulirako muntu n'omu, kubanga baali batidde. [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bava ku ntaana nga baddukana mangu; kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya.