Mark 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yazuukira ku makya ku olwo olusooka mu wiiki, yasooka kulabikira Mariya ow'e Magudala gwe yali agobyemu emyoyo emibi omusanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamala okuzuukira ku makya ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakazi abo ne bagenda eri Peetero ne banne, ne babategeeza mu bimpimpi ebyo byonna omuvubuka bye yabagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okuzuukira mu makya ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu.