Mark 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'ennaku nga ziizo bwe yakomawo mu Kafarunawumu, ne bawulira ng'ali waka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga wayiseewo ennaku, Yesu n'akomawo mu kibuga Kafarunawumu. Abantu bwe baawulira ng'azze mu maka agamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju.