Mark 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'asituka amangu ago, n'akwata olunnyo lwe, n'afuluma ebweru bonna nga balaba. Bonna ne bawuniikirira, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Tetulabanga kiringa kino!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agolokoka, amangwago ne yeetikka ekitanda kye, n'afuluma nga bonna balaba. Awo bonna ne beewuunya ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “Tetulabangako kintu bwe kiti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago, omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda ke, n'atambula. Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda, ne bagamba nti: “Kino tetukirabangako!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka, ne yeetikka amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maaso gaabwe bonna; awo ne beewuunya bonna ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Tetulabangako bwe tuti.