Mark 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye yali ayita, n'alaba Leevi, mutabani wa Alufayo; yali atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” N'asituka n'amugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali ng'atambula ku lubalama, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde we yasoloolezanga omusolo, n'amugamba nti, “ Ngoberera.” N'agolokoka n'amugoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'atambula, n'alaba Leevi, omusolooza w'omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu oyitenga nange.” Ne Leevi n'asituka n'amugoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali ng'ayita, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka n'ayita naye.