Mark 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali atudde mu nnyumba y'oyo okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi nabo ne batuula ne Yezu n'abayigirizwa be, kubanga bangi mu bo baali bamugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ng’ali wamu n’abawooza, n’abalina ebibi, n’abayigirizwa be, ng’abantu bangi bamugoberedde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba ya Leevi ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi baali batudde ne Yesu n'abayigirizwa be: kubanga bangi abaali bamugoberedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyumako, Yesu n'agenda n'abayigirizwa be ewa Leevi ku kijjulo. Abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi, nabo ne bagenda naye. Bonna ne batuula ne Yesu okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba y'oyo ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be; kubanga baali bangi, abaagenda naye.