Mark 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawandiisi b'Abafarisaayo bwe baalaba ng'alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baalaba Yesu ng’alya n’abalina ebibi n’abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya n’abawooza n’abalina ebibi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba Yesu ng'aliira wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “ Lwaki aliira wamu n'abawooza n'abalina ebibi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, bwe baalaba Yesu ng'aliira wamu n'aboonoonyi n'abasolooza b'omusolo, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki aliira wamu n'abasolooza b'omusolo era n'aboonoonyi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba ng'alya wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti Alya era anywera wamu n'abawooza n'abalina ebibi.