Mark 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawulira, n'abagamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde. Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yakiwulira n'abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yawulira kye babuuza, ye yennyini n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu bwe yawulira n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde: sajja kuyita batuukiriru wabula abalina ebibi.